Psalms 50

Zabbuli ya Asafu.

1 aOyo Owaamaanyi, Mukama Katonda,
akoowoola ensi
okuva enjuba gy’eva okutuuka gy’egwa.
2 bKatonda ayakaayakana
ng’ava mu Sayuuni n’obulungi bw’ekitiibwa kye ekituukiridde.
3 cKatonda waffe ajja, naye tajja kasirise,
omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera,
n’omuyaga ogw’amaanyi ne gumwetooloola.
4 dAkoowoola abali mu ggulu ne ku nsi,
azze okusalira abantu be omusango.
5 eAgamba nti, “Munkuŋŋaanyize abantu bange abaayawulibwa,
abaakola nange endagaano nga bawaayo ssaddaaka.”
6 fEggulu litegeeza obutuukirivu bwa Katonda
kubanga Katonda yennyini ye mulamuzi.

7 g“Muwulirize, mmwe abantu bange, nange nnaayogera.
Ggwe Isirayiri bino bye nkuvunaana:
Nze Katonda, Katonda wo.
8 hSikunenya lwa ssaddaaka zo,
oba ebiweebwayo ebyokebwa by’ossa mu maaso gange bulijjo.
9 iSikyakkiriza nte nnume n’emu evudde mu kiralo kyo,
wadde embuzi ennume ezivudde mu bisibo byo.
10 jKubanga buli nsolo ey’omu kibira yange,
awamu n’ente eziri ku nsozi olukumi.
11Ennyonyi zonna ez’oku nsozi nzimanyi,
n’ebiramu byonna eby’omu nsiko byange.
12 kSinga nnumwa enjala sandikubuulidde:
kubanga ensi n’ebigirimu byonna byange.
13Ndya ennyama y’ente ennume,
wadde okunywa omusaayi gw’embuzi?

14 l“Owangayo ssaddaaka ey’okwebaza eri Katonda;
era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu Ennyo.
15 mBw’obanga mu buzibu,
nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.”
16 nNaye omubi Katonda amugamba nti,

“Lekeraawo okwatulanga amateeka gange,
n’endagaano yange togyogerangako.
17 oKubanga okyawa okuluŋŋamizibwa,
n’ebigambo byange tobissaako mwoyo.
18 pBw’olaba omubbi, ng’omukwana;
era weetaba n’abenzi.
19 qOkolima era olimba;
olulimi lwo lwogera ebitali bya butuukirivu.
20 rMuganda wo omwogerako bibi byereere buli kiseera,
era owayiriza omwana wa nnyoko yennyini.
21 sEbyo byonna obikoze, ne nsirika,
n’olowooza nti twenkanankana.
Naye kaakano ka nkunenye,
ebisobyo byonna mbikulage.

22 t“Ggwe eyeerabira Katonda, ebyo bisseeko omwoyo,
nneme kukuyuzaayuza nga tewali na wa kukuwonya.
23 uOyo awaayo ssaddaaka ey’okwebaza angulumiza,
era ateekateeka ekkubo
ndyoke mulage obulokozi bwa Katonda.”
Copyright information for LugEEEE